Ani alekera munne? Abakadde ba FDC basabye Nandala ne Amuriat bakkaanye
Waliwo essuubi nti olunaku lw'enkya werunaggwerako, anaakwatira FDC bendera ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga mu kalulu ka 2026 ajja kuba ategeerekese. Olwaleero akakiiko k'abakadde b'ekibiina basisinkanya ababiri abavuganya ku kifo kino okuli Patrick Oboi Amuriat ne Nathan Nandala Mafabi okubaperereza omu alekere munne okusobola okukuumu obumu ku kibiina ekyakosebwa oluvannyuma lw'abamu ku bannakibiina okwewaggula ne bakola ekibiina ekirala ki PFF.