AMAYITIRE NGA ZAHARA KAWUMA: Aba kkampuni ya infinity staffing bagumizza abazadde
Aba Kampuni etwala abantu ku kyeyo eya Infinity Staffing esangibwa e Munyonyo bavuddeyo ku by'omuwala Zahara Kawuma bazadde be gwa balumiriza nti yawambibwa. Omuwala amaze omwezi mulamba nga famile ye temuwuliza ekibaviiriddeko okugenda bamubanje aba Kampuni eno. Aba Kampuni eno bagamba nti omuwala ono ali mu kujjnjabirwa mu kifo ekibudaabuda abafunye obuzibu ku bwongo nga yensonga lwaki essimu ze teziriiko.