AMATIKKIRA GA KABAKA AGA 32: Emitendera omulangira w’engoma mw’ayita okufuuka Kabaka
Buli lwezikoona enaku z’omwezi 31 omwezi ogw’omusanvu buli mwaka lutujjukiza omutanda lweyatuuzibwa ku Namulondo ku kasozi Naggalabi e Buddo oluvannyuma lw'akaseera akawera ng'obwakabaka buwereddwa.Nga twetegekera olunaku lw’amatikkira ga Ssemunywa ag’omulundi ogwa 32, olwaleero tugenda kubuulira emitendera egyayitibwangamu mu myaka egyasooka omulangira okufuuka Kabaka nga muno mwalimu n'obulombolombo obukambwe, obwalina okuwerebwa.