AMATABA E KWEEN: Emmere y’abalimi eyonooneddwa
Abalimi abawerako mu Disitulikiti ey'e Kween gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw'anamuttikwa w'enkuba avuddeko amataba ayonoonye ebintu byabwe ebiwerako.
Amagombolola mwenda gegakoseddwa ng'era Amyuka omubaka wa Pulezidenti mu Kween Kenneth Chamutai ategezeza nga bwebali mukunoonyereza okumanya omuwendo gw'ebintu ebyayononeddwa nanenya n'abamu ku batuuze okulemera kukulimira ku mbalama z'emigga.