Amasomero agali mu ntobazi:Gibadde miranga nga NEMA emenya agasangibwa e Nabweru
Abazadde b’amasomero mu kitundu ky'e Nabweru ab’ekitongole kya NEMA webamenya ebizimbe bayungudde amaziga bwebayitiddwa bukubirire okunona abaana baabwe oluvannyuma lw’amasomero okuggalawo ebizimbe by'ago bimenyebwe. Kino kiddiridde ab’ekitongole kino okulagira ab’amasomero okwamuka ebitundu by’entobazi nga tebanabamenya ku kifuba nga bwe kikolebwa ku b’amayumba. Ab’essomero lya Bristol Academy School n’erya Gracious Nursery and Primary School beebagondedde ebiragiro ebyo, olwo ne baggalawo olusoma ekikosezza abazadde n’abayizi.