AMASANNYALAZE G’ENJUBA: Ekkolero lya kuzimbibwa e Kapeeka
KISUUBIRWA nti mu mwaka ogujja Uganda ejja kuba etandise okukola ebyuma bi solar panels ebirembeka amasannyalaze okuva ku njuba. Minisita ow’ebyamakolero David Bahati y’atongozza okuzimba ekkolero erigenda solar panels zino e Kapeeka mu district y’e Nakaseke. Obuwumbi bwa sillingi 135 ze zigenda okuzimba ekkolero lino. Aba kampuni eya Nexus Green be bagenda okuteekawo ekkolero lino era basuubira nti buliba bwe buti mu December ow’omwaka ogujja nga solar panel tuzigula Kapeeka mu Luweero.