ALINA ESSASI MU MUBIRI: Wuuno omukazi awangadde nalyo emyaka 19
Waliwo abantu bangi mu bugwanjuba bwa Uganda naddala mu kitundu kye Teso n’emiriraano abatambula n'amasasi mu mibiri gyabwe nga gaabakubibwa mu lutalo lwa Kony wakati wa 2003 ne 2005. Ekitongole ky'obwannakyewa ki Health Right International nga kikolera wamu ne Soroti Regional Referral Hospital baliko enteekateeka gyebatandise okulaba nga abantu bano balongoosebwa. Wabula bagamba obwetaavu bukyali bungi okulondoola abantu bano n'okubayamba, kuba embeera gyebalimu tebasobozesa kwejja mu bwavu.