Akamyufu ka NUP, okuzza empapaula z’okusunsula kutandise
Akakiiko k'eby'okulonda mu kibiina ki National Unity Platform Ka Electrol Management Committee katubuulidde nti omuwendo gw'abeggwangiza okukwatira ekibiina bendera ku mitendera egy’enjawulo gweyongedde nga kino bakirabidde ku kuggwawo kwa foomu zonna zebaali baakubisa okuweebwa abaagala okulaga obwetaavu bw’okuvuganyiza ku tiketi y’ekibiina.Mu kaseera kano abaali baatwala foomu zino bakutte olunaku olw’okubiri nga bazikomyawo eri akakiiko kano , nga kukitebe abakomyawo kuliko abaagala ekyobubaka bwa palamenti ne ba ssentebe ba disitulikiti , songa abalala bazitwala ku wofiisi z’ebitundu byabwe.