Akamyufu ka NRM kongezeddwayo, okulonda kw’abaliko obulemu kukataataaganyizza
Akakiiko k’ebyokulonda mu NRM kongodeyo okulonda kwa Kamyufu okutusa nga 17 omwezi ogujja. Okwongezaayo kuno kuddiridde okuba nti akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga kalina okulonda kw'abaliiko obulemu nga 16 olunaku olubadde lwasalibwawo okuberako akamyufu.Tanga Odoi akulira akakiiko k’ebyokulonda okwogera bino abadde mu kusunsula abegwanyiza ebifo ku lukiiko olufuzi olwa NRM oba CEC.