Akamyufu ka NRM, e Sembabule wakyaliyo abakawakanya
Minisita omubeezi ow’eby'obulamu era omubaka wa Mawogola West Hanifa Kawooya awakanyizza ebyavudde mu kulonda kwa NRM okw’abakulembeze ab’okubyalo e Sembabule ku kyalo Kenziga w’azaalwa ng’agamba nti kwabaddemu okubbira okutagambika. Kawooya okutabuka kyaddiridde eyakubirizza okulonda kuno Patrick Ntale okugaana abamu ku bantu okulonda nga agamba nti tebaabadde mu Yellow Book kyoka minisita Hanifa Kawooya yye ng’alumiriza nti bawagizi be. Newankubadde yye yalondeddwanga akiikirira abakadde ku kyalo, agambye nti agenda kujjulira ku nsong eno.