AKALULU E BUGWERI: Poliisi enoonyereza ku yattiddwa eggulo
Waliwo omuvubuka eyattiddwa mu disitulikiti ye Bugweri nga kigambibwa nti kyavudde ku kulwanagana wakati wa bawagizi ba Abdu Katuntu akiikirira ekitundu kino mu palamenti mu kiseera kino era nga yesimbyewo ne Julius Galinsonga gwavuganya naye. Okulwanagana kuno kwabaluseewo akawungeezi k'eggulo mu kabuga ke Idudi ababiri bano gyebakubye kampeyini zzaabwe ezisembayo. Poliisi etandise okubuuliriza ku nsonga eno