Akabenje k’e Hoima: Omuwendo gw’abafudde gulinnye okutuuka ku 9
Omuwendo gw’abantu abaafudde oluvannyuma lw’akabenje akaagudde ku kyalo Kitegwa mu district y’e Hoima gulinnye okutuuka ku bantu 9. Bataano ku bano kikakasiddwa nti basirikale ba poliisi kw’ogatta n’abantu ba bulijjo bana. Abapoliisi bano baabadde n’abakwate nga babazza ku kyalo Kitegwa nga baliko omusango gwe babanoonyerezako.