Abasawo baliko amagezi ag'okulwanyisa COVID-19 ge bawadde bannansi
Nga gavumenti bwesala entotto ku ngeri y'okwangangamu ekirwadde ki COVID-19 ekyazzeemu okusitula enkundi, ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical Association kivuddeyo n'ekiwabula bannayuganda ku ngeri gyebayinza okwewala ekirwade kino okuyita mu byendya. Bano bawadde n'amagezi amalala agayinza okweyambisibwa abantu abababa beezuddemu obubonera bw'ekirwadde kino.