Abanaakwatira NUP bendera, okusunsula mu b’e Kampala kukyagenda mu maaso ku kitebe
Akakiiko k'ekibiina ki NUP akalungamya eby’okulonda ka electoral management committee kataddewo olw’okusatu n’olwokuna okusunsulirako bannakibiina bonna abaagala okukikwatira bendera mu kalulu kaabonna aka 2026 abanaaba bafisse okusinziira ku nnaku zeebaalaliikirwako okubasunsulirako.Banna NUP batubuulidde ng'enteekatateeka yaabwe ey’okusunsula bweri ennambulukufu nga teyina weeyinza kuvaako kuyiwa musaayi oba ebikolwa ebirala eby’effujjo ng'ebyalabikidde mu kamyufu k’ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM.