Abalina siriimu e Kalangala ekeleziya ebayambye okuyiga okweyimirizaawo
Olunaku olw’enkya Uganda lw’egenda okukuza olunaku lw’ojjukira kko n’okwefuumitiriza ku bulabe akawuka ka mukenenya bwekatuusizZa ku uganda okuviira ddala mu mwaka 1982 akawuka lwekazuulwa mu uganda. Omusasi waffe Baker Ssenyonga Mulinde atuseeko ku kizinga kye Kalangala ekimu ku bitundu ebisinze okukosebwa akawuka kano n’awayaamu n’abantu abaali baweddemu esuubi olw’akawuka okubakwata. Tukitegedde nti bano okusinga ekeleziya katolika y’ensinze okukola ogw’okubazaamu esuubi.