ABALINA ENDWADDE Z’OLUKONVUBA :Ebbula ly’eddagala lisajjudde embeera
Wabaluseewo okukubagana empawa wakati wa Ministule y'ebyensimbi neyebyobulamu ku bikwatagana ne bbula lye ddagala mu malwaliro kumpi eribuutikidde eggwanga lyonna .Aba Minisitule y'ebyensimbi bessamudde ebigambibwa nti obuzibu buva gyebali olwokulwawo okuwayo ssente eri ekitongole ekitambuza eddagala ekya NMS. Wabula Minisita w'ebyobulamu Ruth Aceng agambye nti embeera yonna evudde ku ministule y’ebyensimbi .Ono ayogeddeko eri palamenti olwaleero ku mbeera nga bweri mu ggwanga.Minisitule yebyensimbi egamba nti wezaatukidde nga 31 omwezi oguwedde ekitongole ekitambuza eddagala mu ggwanga ekya NMS kyalina ssente ku akawunta zakyo zekitanakozesa eziwerera ddala obuwumbi 66 , n’olwekyo obuzibu tebuli ku nsimbi.