Abakyala abakatuliki, Ssaabasumba abasibiridde entanda mu lukung’aana lwabwe
Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere mwennyamivu olw’obutabanguko mu maka , kko nebikolwa ebyobugwenyufu ebyeyongedde ensangi zino mu ggwanga . Ssaabasumba agamba nti abaana abawala okujjamu embuto kati bakufudde musono , kyoka nga bino byebimu ku bitattana ebiseera bye ggwanga eby’omumaaso.Bino ssaabasumba abyogeredde mu lukungaana lw’abakyala abakatuliki munsi yonna lu World Union of Catholic Women's Organisations conference olutegekeddwa kukiggwa kyabakatuliki e Namungongo.