ABAAKOSEBWA ENJEGA YE KITEEZI: Abaana b’abali mu nkambi babatutte mu masomero ga gav’t
Abaana 23 ababadde bawangaalira mu nkambi y'abaakosebwa enjega y'e Kiteezi leero nabo batandise okusoma. Okusinziira ku RDC w'e Kasangati abaana bano batwaliddwa mu masomera ga gavumenti agali mu kitundu awaagwa enjega omuli nerya Kiteezi Church of Uganda awaakubwa enkambi y'abaakosebwa mu njega eyaliwo. Kyokka abamu ku bazadde abaakosebwa bakyesisiggirizza okutwala abaana baabwe mu masomero ga gavumengi ge bagamba nti galina omutindo gwa kiboggwe.