Aba takisi bagamba ssi baakukola wiiki ejja lwa bipapula by’okunguudo
Olukiiko wakati wa minisitule y’ebyentambula n’abavuzi kwossa ba nnanyini taxi olutudde enkya ya leero okwongera okukuba ttoocci mu nkola y’okweyambisa kkamera okugaba ebipapula lulemereddwa okubaako kyelutuukako oluvanyuma lw’aba Taxi okwekandagga ne baluvaamu nga bawakanya ekya abakulu mu minisitule okugaana okuyimiriza enkola eno mbagirawo. Wadde nga kkamiisona avunaanyizibwa ku kulungamya ebyentabula mu minisitule, Winstone Katushabe aliko by’atangaazizza ku nkola eno aba Taxi bakalambidde nti singa tewabaawo kikyuka baakuyimiriza emirimu okutandika ne Mande ya Ssabiiti ejja.