Aba NUP abalala baguddwako emisango: balangiddwa okubba ssente z’abaserikale n’essimu
E Masaka waliwo abavubuka abawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform 12 abaggudwako emisango okuli okubbisa eryanyi, okubba essimu ssaako n’okukuba abasirikale n’abantu abalala, okukakana nga basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 20 omwezi guno.Bano baakwatibwa ku lunaku lwa sande sabiiti ewedde bwebali bagenze okwetaba ku mupiira ogwategekebwa Lubowa Sebina Gyaviira omu ku beegwanyiza okukiikira ekitundu ekya Nyendo Mukungwe mu palamenti, kyoka poliisi netaganya mupiira guno kugenda mu maaso nga egamba nti gwali gugenda kufuukamu kadaala ka byabufuzi.