Aba Minisitule y’ekikula ky’abantu bagamba etteeka ku bisiyaga lyetaagisa
Abakulu okuva mu Ofiisi eya Ssaabawaabi wa Gavumenti ssaako n'eya Ssabawolereza wa gavumenti bagamba nti eteeka ku kulwanyisa ebisiyaga teryetaagisa kubanga obuwaayiro obusinga bulambikiddwa bulungi mu tteeka lya Penal Code. Bano bagamba nti ekyandyetaagisizza kwekukola enoongosereza mu Penal Code okusinga okubeera n’amateeka amangi. Bano leero balabiseeko eri akakiiko ka palamenti akalondoola eby’amateeka, akali mu kufuna ebirowooza ku bbango lyokulwanyisa ebisiyaga.