AB’AKAKIIKO K‘EBY'OKULONDA: Palamenti ebasunsudde; Kibirige Ssebunya ne Etonu tebabaddeeko
Oluvanyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako, palamenti kyaddaaki esunsudde Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama , omumyukawe Aisha Lubega ne ba kamiisona bataano.Wabula eyali omubaka wa Munisipaali ye Nansana Robert Kasule Ssebunya ne Pamela Etonu Okudi basuuliddwa ettale nga bano baalabikira ku lukalala olwasooka okufuluma.