‘Tetunapondooka ku mmwanyi’: Ab’oludda oluvuganya balangiridde ekiddako
Ababaka ba Palamenti abali ku ludda oluwabula gavumenti batubuulidde nga bwe bagenda okutandika ekiwendo ekizuukusa ebirime omuva ensimbi bye bagamba nti bizze bizikirizibwa gavumenti mu ngeri ya kagenderere. Okusalawo kuno bakwesigamizza ku kuyisibwa kwe bbago ly'e mmwanyi li Coffee Amendment bill 2024 elyasanyaawo ekitongole ekyali kiwaniridde okulima emmwanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee Development Authority. Akulira oludda oluwabula gavumenti Joel Ssenyonyi mungeri y'emu alaze obunyikaavu eri sipiika Anita Among olw'obutafaayo ng'abasajja bakawuula balumba palamenti, ne basikambula ababaka mu ngeri eswaza.