‘Seeguya kujja wammwe’ - Museveni ayatulidde abamerika
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asekeredde abagwiira abalowooza nti bwebamugaana okugenda mu mawanga gaabwe nti aja kulumwa. Kijjidde mukiseera nga, waliwo ekiwandiiko gavumenti ya America kye yayisizza, ng'etegeeza nga bw'eriko abakungu ba gavumenti beegenda okussaako envumbo y'obutagenda mu America nga kanaluzaala ava ku bikolwa eby’okulinnyirira eddembe ly’obuntu saako n’etteeka ku mukwano gw'ebikukujju palamenti lye yayisa.