“Nze kanneeweyo” :Mpuuga waakukulemberamu ennongoosereza mu mateeka g’okulonda
Omubaka wa Nyendo - Mukungwe Mathias Mpuuga agamba nti yesowoddeyo mu banne akulemberamu okulaba ng’akubiriza ababaka ba palamenti, bannakyewa, bannabyabufuzi okulaba nga wabeerawo enoongosereza mu mateeka agalungamya eby’okulonda muggwanga. Mpuuga agamba nti tekyetaagisa kugenda mu kulonda okuddako okwa 2026 ng’eggwanga teryetegekedde ngeri yakuwaayo buyinza, omulimu gw’amagye mu by’okulonda n’ensonga endala nnyingi.