“MWEWALE OBUNNANFUUSI”: Omulangira Kassim Nakibinge akalaatidde abasiraamu
Omulangira Kassim Nakibenge asabye abasiraamu okwewala embeera y’obunaanfuusi nti buno buvaako okuleeta entalo ezitakoma eri abasiraamu. Jajja w’obusiraamu bino abayogeredde ku Dua y’okusabira omu ku basiiramu eyava mu balamu bwensi eno mu Kitundu kye Nakasozi e Budo. Ono wayogeredde nga Suprime Mufti Sulimani Ndirangwa yakamala okuelkulira obukulu buno . Ate abakulu okuva mu Uganda Muslim Supreme Council basabye abasiraamu okukuumira amaaso mu bwengula mu kawungeezi ko ku Sunday okulaba oba nga omwezi guna boneka olwokisiibu kitandike ku Monday.