"MUFUBE OBUTEESWAZA" Omulangira Nakibinge asabye abava okulamaga e Mecca
Jajja wobuyisiraamu mu ggwanga Omulangira Kassim Nakibinge asoomozezza abaakalamaga okuva e Makka obutattana kitiibwa kyabwa Hajj na Hajat nga benyigira mu bikolwa ebivumaganya obusiraamu. Bino Mulangira abyogeredde ku mukolo gwokukukulisaayo ba hajj ne ba hajat abaakava e Maka wamu nokusiibirira abo abateekateka okugenda okutuukiriza empagi yobusiraamu eyokutaano ogutegekeddwa aba Tawakal ku City Hall Mu Kampala