“Mubaleete bawoze” kkooti e Masaka eragidde ku ba NUP abaakwatibwa
Ba puliida ba bavubuka ba NUP e 12 abaakwatibwa ku misango egibavunaanibwa omuli okukuba omusirikale saako okumubbako essimu ne nsimbi batadde ku ninga omuwaabi wa gavumenti okuleeta abawawaabirwa ababiri mu kooti nga kuno kuliko Mutima Emma ng’ono alina obuzibu mu kuwulira ne Jacob Kayondo.Bano babadde tebalabiseeko kyokka nga bannaabwe abalala kkumi bbo baze ate nga tewabadde nsonga eweereddwa. Omulamuzi alagidde omuwaabi wa gavumenti aleete abawawaabirwa bano nga 12 omwezi ogujja.