Mao waakukola ekisoboka okusikiriza NUP okwegatta ku mukago gwa IPOD
Minisita w’e nsonga z’amateeka era nga ye pulezident w’ekibiina ki Democratic Party Nobert Mao atubuulidde nti agenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ekibiina ki NUP kyegatta ku mukago gwa IPOD okutaba ebibiina by’obufuzi byonna mu ggwanga.Mao agamba nti ebibiina bitaano byebyakakkiriza okwegatta ku mukago guno wansi w’eteeka eriggya, kyoka kikyamulumya emeeme okulaba nga NUP ekyagaanidde ddala okwegatta ku mugendo.Ono agambye nti ekibatwala mu IPOD ssi kugabana nsimbi ezigenda eri ebibiina by’obufuzi, wabula kukasa nti mu ggwanga mubaamu emirembe nga bannabyabufuzi bayita mu kuteesa.