Leero bannakibiina ba NUP bajaguzza emyaka etaano egy’ekibiina kyabwe
Nga NUP ejaganya okuweza emyaka 5 mu nsiike y'ebyobufuzi, abatunuulira eby’obufuzi bagamba ekibiina kikoze bulungi okusika amaanyi g'abavubuka mu by’obufuzi. NUP egamba nti ebigendererwa byayo bingi bisikatidde lw'abali b'enkwe abaagiyingira, nti naye kati kebazze beekenenulamu mu myaka gino etaano, basuubira okubaako ebiruubirirwa bye batuukako mu kiseera ekiddako. Abakenenula ensonga z’ebyobufuzi kyokka balabudde nti ebiruubirirwa bino byandirema singa ekibiina kisigala kitambulira ku muntu omu beppo n'abakulembeze b'ekibiina ate okwagala okwenyigira mu by'obufuzi by'okuvuganyaako.