Ensoke Eyakuba Kalangala :Wayise emyezi ena, abaakosebwa tebannavvuunuka mbeera
Oluvannyuma lw’emyezi kumpi ena (4) nga ensoke emaze okugoya ab’e Kalangala ku kizinga Buggala ne gye buli eno abaakosebwa bangi bakyali mu mbeera ya kwekubagiza olw’ebyo bye baafiirwa n’addala amayumba gaabwe agaatikkulwako obusolya. Ensoke eno yagoyaagoya ne poliisi y’e Kalangala ebyembi ne mufiiramu omupoliisi n’omukyala w’omu ku bapoliisi. Abantu ba bulijjo ne poliisi batunyumirizza embeera gye bayitamu okuva enjega eno lwe yagwawo.