“Effujjo mu kulonda teribatiisa” Katikkiro Mayiga asabye abavubuka okusigala ku mulamwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akubirizza abavubuka okusigala nga beenyigira mu by'obukulembeze newankubadde ng'akalulu ensangi zino keeyongedde okubaamu emivuyo. Mayiga alowooza nti emivuyo gino gyandiba nga gikolebwa kagenderere okwenyisa abavubuka okwetaba mu kalulu.Okwogera bino Katikkiro abadde asisinkanye abavubuka b’ekibiina ki JEEMA, abakiise Embuga olunaku olwaleero.