EBYAVA MU KAMYUFU :Abanene abaawanguddwa batutte okwemulugunya kwabwe
Abeemulugunya kubyavudde mu kamyufu ka NRM bakyeyiwa ku Wofiisi z'akakiiko k’ebyokulonda aka NRM okuwakanya alizaati zino.Okwemulugunya kuno kusombodde abanene abawerako okuli minsita Musa Ecweru ne Esther Mbayo.Okusinzira ku kakiiko k’ebyokulonda abeemulugunyiza baweze 103 webutukidde olwaleero.