E Luweero poliisi esobeddwa lwa bubenje ku nguudo
Abantu 21 bebaalugulamu obulamu mu bbanga lya mwezi gumu gwokka mu bubenje 46 obwaagwawo mu ttunduttundu lya Luweero okuva nga 29 ogw’omwenda okutuuka nga 26 ogw’ekkumi omwaka guno. Obubenje buno okusinziira ku poliisi bwava ku kuvugisa kimama.
Kati nga twolekera ennaku enkulu ez’ebikujjuko, Poliisi mu bendobendo lya Luwero etongozza kawefube w’okuziyisa obubenje ng’esomera abagoba b’ebidduka kko n’abasabae okubwewala. Herbert Kamoga yali e Luwero, era katuwe ebikirawo.