“Biwooma okukira enseenene” Biibino ebiwuka ebiyitibwa amasiinya ebiriibwa e Ssese
Mu ngeri ey’efaanaanyiriza abawoomerwa enseenene, mu bizinga by’e Ssese bawoomerwa ebiwuka ebiyitibwa amasiinya bye bagamba nti okuva edda nga kye ky’okulya omuntu ky’asiikira omugenyi azze awaka n’awulira nga amuwadde ekitiibwa n’okumulaga omukwano.Bino nno bya bbeeyi okusinga ne ku nseenene nga ekiwuka ekimu bwe kiba kigezze bulungi bakigula ne ku nnusu lukumi mu bitaano (1500/=). Kyokka tukulabula, ow’emmeeme ennafu ebifaananyi biyinza okukaluubiriza okulaba.PATRICK SSENYONDO yabaddeko e Ssese n’amanya ebiwuka bino gye babiggya, ensiika yaabyo n’engeri gye biwoomeramu abaayo.