Abamu ku baawanguddwa mu kamyufu Ka NRM baakwesimbawa ku bwannamunigina
Ng’ekibiina ki NRM kyetegekera akalulu k'aba ssentebe ba disitulikiti ne ba mmeeya ba divsion ez'enjawulo, waliwo bannakibiina abeesomye obutakeetabamu olw'emivuyo egyeyolekedde mu kulona abanaabakwatira bendera ku bifo by'obubaka bwa Palamenti.Mu ngeri y’emu abaawangulwa mu kamyuufu ka NRM ku lw’okuna lwa wiiki ewedde begasse ku bannabwe abalala mu bitundu by’eggwanga ebiralala abeewera okwesimbawo ku bwanamunigina nga bagamba nti akalulu tekaali k'amazima na bwenkanya.