LIIGI Y’OMUPIIRA GWA YUNIVAASITE: UCU ne St Lawrence Mukono baakuttunka enkya
Liigi y'omupiira gw'amatendekero agawaggulu, University football league y'akuddamu okutojjera olunaku lwenkyA era nga ttiimu ya UCU ne St. Lawrence University e Mukono be bagenda okuziggulawo. Bano baasemba okusisinkana mu fayinolo ya 2019 era UCU n'ekuba St. Lawrence University okwetikka ekikopo ky'omulundi ogwo.