Ssejjemba ayimbuddwa, kkooti emukkirizza okweyimirirwa ku kakalu kaayo
Omulamuzi wa kooti esookerwako e Mpigi Acca Joan akiriza sentebe wa disitulikiti y'e Mpigi, Martin Ssejjemba okweyimirirwa ku kakalu ka bukadde 2 ez'obuliwo, ng'ono abamweyimiride basabiddwa obukadde 20 ezitali zabuliwo, kyokka n'alagirwa okuwaayo passport ye eri kkooti.Ssejjembe avunaanibwa wamu ne Ssentebe w'akakiiko akagaba emirimu ku disitulikiti y'e Mpigi, Fredrick Kirumira kwossa omuwandiisi w'akakiiko, Sarah Nakamoga nga bonna bakkiriziddwa okweyimirirwa ku bukwakulizo bwebumu era nga baakuddamu okulabikako eri kkooti eno ng'enaku z'omwezi 29 Omwezi guno.