EMPAKA ZA UGANDA CUP: Vipers enkya ettunka ne Wakiso Giants
Oluzannya lwa ttiimu 16 mu mpaka za Uganda cup lugenda kuggyibwako akawuuwo olunaku lwenkya n'emipiira ebiri egigenda okuzannyibwa ku bisaawe ebyenjawulo. Ttiimu ya Vipers abaakamala okugoba omutendesi omuzungu bagenda kukyalira Wakiso Giants e Wakiso so nga yo Bright Stars egenda kukyaza Kiyinda Boys ku Kavumba Recreation Grounds.