UBOS esabye abantu bonna abeenyigira mu kubala abantu
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Beaureal Of Statistics [UBOS] kisabye abantu bonna abeenyigira mu kubala abantu okwakaggwa abatannasasulwa okutereeza ebibakwatako balyoke basasulwe.
Bano bagamba nti webutuukidde olwaleero nga abasinga obungi basasuddwa nga abatono abakyabulayo baliko bye balina okutereeza olw’ensobi zebaakola mu bibakwatako nga kw’otadde n’abakyatuulidde ebintu ebyabaweebwa mu kubala abantu abatannabizaayo.