TWAGAMBA KUTULIYIRIRA : Abatuuze b'e Gimbo -Buyikwe abaasengulwa batabuse
Abatuuze ku kyalo Gimbo mu Kiyindi Town council mu disitulikiti y’e Buyikwe bavudde mu mbeera nga baagala kubasaula ssente zaabwe olw’ebibanja byabwe ebyatwalibwa ekitongole ky’amazzi. Bano kyebakoze kwekusitula emifaliso gyabwe nebagyiteeka mu kkubo okulaga obutali bumativu bwabwe.