Omusajja yeeyokerezza mu nnyumba y'omutuuze
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Wairaka mu town Council y’e Kakira e Jinja omusajja atannategeerekeka bweyeekumyeko omuliro n’asirikkira mu nyumba ya mutuuze munnabwe. Ono okwejja mu budde kiddiridde abatuuze okutandika okumukuba bwe baamukutte ng’abbye Lumonde mu musiri gwa munnabwe, songa babade baakamusuuza ente.