Omusajja ayokerezza mukyala we mu nnyumba
Abatuuze b’e Kazo muganzirwaza mu gombolola y’e Nansana mu Nansana byabaweddeko mu kiro omusajja bweyakumye ku mukyala we omuliro mu muzigo gwebabadde bapangisa. Kigambibwa bano baali bafuna obutakaanya nga omukazi yanoba eno gyeyamulumbye n’ateekera enyumba mwabadde asula omuliro. Abatuuze baasobodde okutaasa omukazi nebamuddusa mu ddwaliro nga ali bubi, n’omusajja naye nebamukwata nga mu kiseera kino ali ku mpingu mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’abatuuze naye okumugajjambula.