Omusomesa eyakabasanya abaanaasabye kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu
Omusomesa w’e Kabale Junior Tukwasibwe, kkooti ewozesa bakalintalo gwe yasingisa emisango egyekuusa kukabasanya abaana mukaaga be yali alabirira asabye kkooti emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu ng’agamba nt alina famire gy’alina okulabirira omuli ne nnyina akuliridde mu myaka. Tukwasibwe agamba nti emyaka omukaaga gyamaze mu meere e Luzira gimumaze okukyuka ngasuubiza okuba omuntu omulungi ngayimbuddwa. Wabula Oludda oluwaabi olukulemberwa Joseph Kyomuhendo lusabye kkooti, ono emuwe ekibonerezo kya kusibwa mayisa okusobola okubeera ekyokulabirako eri abalala obutageza kukola bikolwa nga bino.