OKUZAAWO EKISULO KYA BILALA ISLAMIC : Abasiraamu bawaddeyo obuyambi
Abayizi ku ssomero lya Bilal Islamic Primary school e Bwayise lyakuddamu okuggulawo sabiiti egya oluvanyuma lw’okumala wiiki namba nga abayizi tebasoma olw’omulira ogwayokya ekisula ky’abayizi kyonna nekibengeya. Abasiraamu ab’enjawulo olwaleero Jumah bagyikwatidde ku muzikiti gw’okusomero lino mukaweefube w’okusonda ensimbi ezizaawo ekisula kyabayizi ekyajja era obukadde obusobya mu 70 bwebusondeddwa.