Okuwandisa aba Boda Boda abaafikira kutandika ku bbalaza
Ekitongole ki Kampala Capital City kirangiridde nga bwe kigenda okuttukiza okuwandiisa kko n’okubangula abagoba ba boda boda mu Kampala ku ngeri entuufu gyebalina okuvugamu bodaboda. Mu kuwandiisa okwasooka abagoba ba bodaboda 10500 bebawandisibwa mu kamala, kale nga ku mulundi guno batunuulidde okwongera okuwandiisa abalala 15,000 okutusa omuwendo ogwetaagisa mu Kampala. Okusinziira ku Minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye, okuwandiisa kuno kutandika 28th omwezi guno.