OKULWANYISA OKUKUSA ABAANA: Bannakyewa bagamba gavumenti tekoze kimala
Minister w’ensonga z’obwenkanya n’amateeta Nobert Mao, ayagala gavumenti n’abantu sekinnoomu okukangula ku ddoboozi ku bantu abakukusa bannaabwe naddala abaana abato. Agamba buli nsonga eno lwesaagibwamu, ebikolwo by’okukukusa abaana byeyongera. Bino abyogedde bwabadde asisinkanye ebibiina by’obwanakyewa ebivunaanyizibwa ku nsonga z’okukukusa abaana okusala amagezi butya kino bwekiyinza okukomezebwamu.