Okulwanyisa obumenyi bwamateeka e Mpigi
Bakansala abakiika ku disitulikiti ye Mpigi bayisiza ekiteeso okusaba ssabapoliisi wa Uganda Martin Okoth Ochora okubongera poliisi endala mu kitundu kyabwe naddala mu Town Council.
Bagamba nti obumenyi bw’amateeka bubadde bususse mu kitundu kyabwe, kale nga baagala bafuneyo bu poliisi obutono obunaayambako poliisi ye mpigi enkulu.
Bbo abatuuze bawagidde okusaba kwa bakansala kwebakoze.