Okulwanyisa obulyake e Mubende: Akulira ebyobulamu ne banne basindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi w'edaala eriisooka e Mubende Paul Kedi asindise akulira eby’obulamu e Mubende John Vito Bosco Ssendikadiwa, yinginiya wa district John Baptist Muzibura ne John Kamya Birungi nga naye yinginiya ku district e Mubende ku alimanda e Kaweeri okutuusa nga 30 omwezi guno owgokuna.
Omulamuzi abasomedde emisango ebiri okuli okulagajalira omulimu gwabwe saako n’okwesulirayo ogwa nnaggamba ku mulimu gw’okuzimba ekifo abakyala we bazaliira ku ddwaliro lya Kibalinga Health Centre III