OKULWANYISA NALUBIRI: Gav't etandise okuteeka eddagala mu malwaliro
Abakulembeze b’e Gombolola ya Makindye Ssaabagabo n’abakampuni ya Roofings badduukiridde abantu mu kitundu kino bwebabategekedde olusiisira lw’eby’obulamu okubakebera obulwadde bwa Nnalubiri oba Sickle cell. Mukiseera kino minisitule y’eby’obulamu ategeezeza nga bwetandise okuteeka eddagala lya Nnalubiri mu malwaliro ga gav’t wadde nga likyali ttono.